Amawulire

Palamenti ewezezza emyaka 100

Palamenti ewezezza emyaka 100

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Palamenti ya Uganda olwaleero ewezezza emyaka 100 ngessiga eribaga amateeka.

Okubaga amateeka kwatandika mu biseera byabafuzi bamatwale ngabangereza bajiyitanga, Legislative Council era olutuula olwasooka lwlaiwo nga 23 March mu 1921 Entebbe, awatulanga wofiisi za gavumenti ezisinga.

Okusinziira ku mukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, Legco yalina abakiise 7, wabulanga abatakubwangako kalulu atenga bonna bali Bazungu nga yakubirizibwanga Governor, Sir Robert Croydon.

Oluvanyuma olukiiko luno lwakula okutuuka ku bakiise 32 mu mwaka gwa 1950, nebawera 61 mu 1955 ate mu 1961, nebaogerwako okutuuka ku bakiise 78.

Okuva mu biseera ebyo ababaaka bazze bongerwako, nga wetwogerera palamenti eye 10 erina abakiise 457 songa eyomulundi 11 egenda kuberamu ababaka 529.

Palamenti ebadde nabakiise 10 okuli pulezidenti Museveni, Edward Ssekandi, Francis Ayume, James Wapakhabulo nabalala.

Mungeri yeemu akolanga akulira ebyamwulire ku palamenti, Hellen Kaweesa, agambye nti olwaleero wategekeddwawo olukiiko olwenjawulo ababaka okukubaganya ebirowooozo ku mirmu gya palamenti.

Kwo okujaguza okwawamu kwakuberawo omwaka ogujja.

Ebimu biukiddwako, Kaweesa agambye nti benyumiriza engeri abantu ensangi zino gyebafaayo okuondoola nokwetaba mu mirirmu gya palamenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *