Amawulire

Palamenti egenda kusunsula Nalule

Palamenti egenda kusunsula Nalule

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa omukulembeze we’gwanga ku bifo ebyenjawulo, olwaleero kagenda kusunsula Hajat Safia Nalule Jjuuko, eyalondeddwa ku kifo kya ssentebbe wakakiiko, aka Equal Opportunities Commission.

Nalule, abadde mubaka akairirra abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe, wabula omukulembeze w’gwanga yamulonze okudda mu bigere bya Sylvia Ntambi Muwebwa.

Akakiiko era kagenda kusunsula nabalala abalondeddwa ku kakiiko kano okuli Joel Ojok, Denis Tumusime, Ibrahim Zaidi Edema ne Sr Mary Wasagali.

Sipiika Rebecca Kadaga yategezezza nti akakiiko kagenda kutuula ku ssaawa 3 ezo’kumakya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *