Amawulire

Paapa alonze Omusumba Paul Ssemwogerere okulabirira Essaza lya Kampala

Paapa alonze Omusumba Paul Ssemwogerere okulabirira Essaza lya Kampala

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abadde ssabasumba we ssaza ekklu erya akamapala Dr Cyprian Kizito Lwanga agalamiziddwa munju ye eyoluberere munda ku lutiko e Rubaga wakati mu nnamungi womuntu abadde mu miranga nokwazirana.

Abantu abebitiibwa bangi okuva mu gavumenti eyawakati ne ye Mengo beetabye ku mukolo ogwokusibula omugenzi.

Ssabasumba yassa ogwenkomerere ku lwomukaga lwa ssabiiti ewedde era kyategerekeka nti yafa kirwadde kya mutima.

Oluvanyuma olwokufa kwe Papa Francis alonze omusumba wessaza lye Kasana Luwero Paul Ssemwogerere ngomulabirizi wessaza ekkulu erya Kampala okutuusa nga lifunye ssabasumba omugya.

Bino byogeddwa omubaka wa paapa mu Uganda, Luigi Bianco, bwabadde asoma obubaka bwa papa akakasiza nti papa Omusumba ssemwogerere gwalonze ku kifo kino

Mu bubaka bwe papa asiimye emirimu Dr lwanga gyalese akoledde ekelezia nasaba abakulembeze abasigadde okwetaga bazibe eddibu ssabasumba lyalese

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *