Amawulire

P6, S4 ne S5 bakuddamu okusoma omwezi ogujja

P6, S4 ne S5 bakuddamu okusoma omwezi ogujja

Ivan Ssenabulya

February 5th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ababadde ne ssuubi nti emirimu egibadde gikyali ku muggalo nti gigenda kugulawo, baakujira nga balinda.

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni agambye nti okuggulawo kugenda kusinziira ku ntekateeka zeddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19.

Bwabadde ayogera eri egwanga akawungeezi akayise Museveni agambye nti abemirimu gye bbaala nebifo ebisanyukirwamu bagenda kusigala ku muggalo, okutuusa ngabantu bamaze okugemebwa.

Agambye nti okubaggulawo kinaaba kyabulabe, ekyandivaamu akatyabaga.

Wano Museveni asabye bann-Uganda bona okussa ekitiibwa amu mateeka nebiragiro ebyatekebwawo okutanfira ekirwadde kino.

Alabudde ku bulagajjavu nokumala gakola byebagala, gyoli obulwadde bwagwawo.

Ebibalo biraga nti Uganda erina abalwadde emitwalo 3 mu 9,735, abantu 327 bebakafa ate omutwalo 1 mu 4,310 nebawona.

Mungeri yeemu gavumenti daaki esazeewo, era nerangirira nti abayizi abali mu bibiina bidirirra ebyakamalirizo baddeyo ku masomero.

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni alangirirdde nti abayizi aba P6, S.3 ne S. 5 baakudayo nga 1 March 2021.

Kati agambye nti ebkyomusanvu, S4 ne S6 bwebanaaba bamalirizza emisomo nga 31st March, ne 6 April, kijja kuwa abayizi bano ababadde mu bibiina ebidirirra ebisembayo ekifo webasomera awagazi.

Kati agambye nti nabamatedekero aga waggulu nezi univasite, bagenda kuddayo okusoma omwezi ogujja.

Ategezezza nga minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, bwegenda okuvaayo nentekateka enambulukufu ku kuggulawo amasomero.