Amawulire

Ow’ekisa yejjusa

Ali Mivule

September 26th, 2013

No comments

Kaihura again

Omusajja enzaalwa ya Somalia wakusigala nga yevuma ekisa.

Ono yagulidde abatuuze omwenge nebaddugaza emeeza wabula olwamaze nebamwefuulira nebamuwaayo eri poliisi nga bemulugunya ku wa gyeyabadde ajje sente enyingi bwezityo.

Abatuuze bbo balowoozezza nti yandiba ng’alya ku za batujju era bwebatyo nebamuwaayo.

Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’ekitundu kya Buganda , Noah Serunjogi agamba oluvanyuma lw’okumusoya ebibuuzo, bakizudde nga musajja watu talina musango gwonna era nebamuyimbula.

Serunjogi agamba abatuuze bakoze bulungi okubeera obulindaala wabula n’agaana okwatuukiriza amanya g’omusomali ono olw’ebyokwerinda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *