Amawulire

Owa poliisi afiiridde mu Somalia

Owa poliisi afiiridde mu Somalia

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omusirikale wa poliisi munnauganda abadde ku mulimu gw’okukuuma emirembe mu ggwanga lya Somalia asangibwa nga afiiridde mu nyumba ye mungeri etategerekeka.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizidwa dayirekita wa Peace Support Operations AIGP Grace Turyagumanawe agamba nti omugenzi ye AIP Edward Bagonza ng’ono yasangibwa akawungezi kajjo nga afiiridde munju ye.

Turyagumanawe agamba nti eggye ekuuma ddembe elya AMISOM ly’eligenda okukola ku mukolo gw’okumuziika.

Abakuuma ddembe bannauganda mu Somalia okuli aba poliisi na b’amaggye bazze bafiira mu nnumba ezikolebwa abatujju ba al-shabaab mu Somalia ne mungeri ezitategerekeka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *