Amawulire

Owa NRM awangudde e Nebbi

Owa NRM awangudde e Nebbi

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Munnakibiina kya NRM Emmanuel Urombi alangiriddwa, ku buwanguzi nga ssnetbbe wa district ye Nebbi omugya.

Ono awangudde banne bwebavuganyizza mu kulonda okwokuddibwamu okujjza ekifo kino.

Akulira ebyokulonda mu district eno Michael Arinaitwe, yalangiridde Urombi ku buwanguzi.

Ono awangulidde ku bululu emitwalo 2 mu 2,280 eyajidde kubwanamunigina George Othuba nafuna omutwalo 1 mu 8,323 ate owa FDC Emmanuel Otai nafuna 4,022.

Omukwanaganya wemirimu gyekitongol kya Citizens Coalition for Electoral Democracy In Uganda, abalondodde okulonda, Crispin Kaheru ayozayozezza aba NRM, olwokutuuka ku buwanguzi.

Ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lweyali ssentebbe wa district Ezrom Alenyo, okufiira mu kabenje mu district ye Pakwachi omwaka oguwedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *