Amawulire

Owa boda boda bamusse lw’akubba nte

Owa boda boda bamusse lw’akubba nte

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze ku kyalo Bulyansiime mu gombolola ye Igombe mu district ye Bugweri bakakanye kuwa boda boda nebamukuba nebamutta, nga bamulumiriza okubba ente.

Omugenzi ye Sinani Kamome ngabadde akolera ku Nsiya stage mu tawuni kanso ye Iganga.

Ssentebbe we kyalo kino Dalausi Mulinda agambye nti ono babadde bamulumiriza, okubba ente okuva ku kyalo Kabaingire mu gombolola ye Buwaya mu district ye Mayuge.

Kigambibwa nti baamulondodde nebamukwatira ku kyalo Bulyansiime gyebamukubidde, okutuuka okumutta.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *