Amawulire

Oulanyaha alambudde abakulira bitongole bya palamenti

Oulanyaha alambudde abakulira bitongole bya palamenti

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Sipiika wa palamenti omugya, omubaka we Omoro Jacob Oulanya olwaleero atandise okulambula zzi wofiisi ezabakulira ebitongole bya palamenti.

Ono yalondeddwa olunnaku lwe’ggulo ku kifo kya sipiika wa palamenti empya ey’omulundi ogwe 11.

Kati okukyala kwe muzi wofiisi zino kubadde kwakibwatukira nga tewali abadde amusubira ku palamenti mu kiseera kino.

Oulanya atandikidde mu wofiisi ya kalaani wa palamenti, wavudde okugenda mu wofiisi yakulira ebyensimbi, atuseeko mu wofiisi ya Editor owa Hansard, akulira etterekero lyebitabo oba library,ewa Director owa ICT nemu wofiis yomubalirizi webitabo omukulu.

Ono era agenyiwaddeko mu wofiisi yakulira abakozi, oluvanyuma agenda kwogera nabamauwlire, okulambulula ensonga zokukyalambula kwe kuno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *