Amawulire

Oulanya ayanukudde Kadaga

Oulanya ayanukudde Kadaga

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omumyuka w’omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah ayanukudde, sipiika Rebecca Kadaga eyamulumiriza obunafu nokwebulankanya ku mirimu.

Bweyali atongoz kampeyini ze ku kifo naye ekyomukubiriza wa palamenti, Kadaga yayanukula ku byogerwa nti abadde tawa Oulanya mukisa nga kyekyamuvirako okutwala omwaka mulamba nga takubiriza ntuula za palamenti.

Kadaga yategeeza nti Oulanya amwekubyeko enfunda eziwerako, ngamutegeeza nti taliiwo agenda mu nkiiko ezitali zimu e bweru we gwanga.

Wabula bwabadde ayogera ne bannamawulire bwabadde yakagemebwa, ssenyiga omukambwe COVID-19 ku palamenti, Oulanya agambye nti amaziima gakuvaayo mu biseera byago ebituufu.

Oulanya agambye nti wakuwangula ekifo kya sipiika, kuabnga Alaina aobukakafu nti ababaka abasinga obungi webali ku lulwe, era bakumulonda.