Amawulire

Oulanya agamba siwakulekera Kadaga

Oulanya agamba siwakulekera Kadaga

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2021

No comments

Bya Patience Ahimbisibwe ne Prossy Kisakye,

Abadde omumyuka wa Sipiika mu palamenti eye 10, omubaka wa Omoro county, Jacob Oulanyah agambye nti tekigenda kubaamu nsa akakiiko kekibiina kya NRM akokuntiko aka CEC okumusaba avve mu lwokaano lwa sipiika alekere abadde mukamaawe Rebecca Kadaga.

Akakiiko ka CEC katuula lunaku lwankya okusunsula abo abegwanyiza ekifo kya sipiika nómumyukawe mu palamenti eye 11.

Oulanyah bino abyogedde ayogerako nomusasi wólupapula lwa Monitor oluvanyuma lwokwewandiisa olunaku lwaleero okuvuganya ku kifo kino nga yeyambisa kaada yekibiina kye ekya NRM.Okulonda sipiika nómumyukawe kwakuberawo ku lunaku olwebbalaza ku kisaawe e Kololo

Mu mwaka gwa 2016, Oulanyah yali ayagala kwesimba ku Kadaga wabula abakulu mu kibiina ne bamusaba alekere Kadaga amaleko emyaka gye 10 nga bwegwali ne Edward Ssekandi kgweyadira mu bigere.

Ebisingawo ku ggulire lino ojja kubisanga mu lupapula lwo olwa Saturday Monitor olufuluma buli lwamukaaga.

Eyali Nampala wa gavumenti mu palamenti Ruth Nankabirwa akunze ababaka mu palamenti eye 11 okulonda has called upon MPs in the Jacob Oulanya ku kifo kya sipiika.

Ono abadde ayogerako eri akakiiko akagenda okuwenjeza oulanya akalulu nábawagizibe nágamba nti ekisanja kya Kadaga talina kyakoze nyo wabula okuteeka ababaka ku bunkenke.

Nankabirwa agamba nti Kadaga abadde ayawukananga nókusalawo kwe kibiina nadda ku ludda lwa bavuganya.

Mungeri yemu ye minisita wa Kampala Betty Amongi agambye nti Kadaga afuzeko ekimala alekere nábalala naddala abakyala nabo bakwate enkasi.