Amawulire

Omwana asse kitaawe naye nebamutta

Omwana asse kitaawe naye nebamutta

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirundi

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kinawankembo mu gombolola ye Kidera distulikiti ye Buyende, omusajja owemyaka 32 bwakidde kitaawe namutemako omutwe, bwabadde amugaana okukuba mukazi we.

Ssentebbe wa LC3 William Kiiza agambye nti abatuuze bavudde mu mbeera, omusajja ono naye nebamukwat nebamukuba nebamutta.

Wabula kitegezeddwa nti omusajja ono abadde munywi wanjaga, ngamanyikiddwa.

Ssentebbe agambye nti asoose kufumita taata we kiso mu lubuto, oluvanyuma nakwata ejambiya namutemako omutwe.

Oluyombo luvudde ku taata okukoma ku mutabani, abadde ayagala okukuba maama.

Kati emirambo gino gyombi kikumibwa mu gwanika lye ddwaliro lya Kidera health centre 4 ngokunonyereza kugendamu maaso.

Abagenzi kuliko Baker Tibamwenda mutabani ne John Tibamwenda taata.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *