Amawulire

omwana akubiddwa n’azirika lwakubba nva

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi ye Kamuli eriko omukazi ow’emyaka 27 gwekutte lwakukuba muwalawe ow’emyaka 3 n’azirika lwakubba nva za binyeebwa.

Lukia Kawuma omutuuze mu zooni ye Bulondo zone mu disitulikiti ye Kamuli y’akwatiddwa olwokubonereza obubi omwana nti y’akutte mu nva.

Omwogezi wa poliisi mu Bisoga East  Michael Kasadha agamba maama y’avudde mu mbeera lwa mwana kukwata mu nva zebaabadde baterekedde taata .

Nakampaati wa maama ono mu busungu obwekitalo y’akutte oguyinja n’atandika okuggunda omwana ku mutwe n’mubiri gwonna n’amuleetako obuvune.

Kasadha agamba omukazi ono baakamuggulako gwakulumya Muntu naye nga basuubira okumuggulako emisango emirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *