Amawulire

Omuzzukulu asse jajja we lwa ssente

Omuzzukulu asse jajja we lwa ssente

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Rukungiri ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 30, agambibwa okutta jajja we abadde atemera mu myaka 74.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi, Elly Maate agambye nti ono ye Jackson Kamwesigye nga mutuuze ku kyalo Kanyankyende mu gombolola ye Bugangari atenga omugenzi ye Bernard Barugaha nga naye abadde mutuuze ku kyalo kino.

Maate agambye nti bano bafunye obutakanya oluvanyuma lwa jajja, okulmererw okumusasaula ssente zeyabadde amukoledde ekipakasi

Kigambibwa nti yamutidde okumpi nekiyungu, nga yamukakanyeko namufumita ebiso.

Bino okuberawo, poliisi egamba nti waliwo eyabadde alaba buterevu omusajja ono, ngatta jajja we.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *