Amawulire

Omuyizi we Kasasa omulala afudde

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

patient in pain

Omuwendo gw’abayizi abaakafa oluvanyuma lw’akabenje akaagudde wali e Lukaya gulinye okutuuka ku 2 oluvanyuma lw’omuyizi w’essomero lya St Charles Lwanga Secondary School Kasasa naye okufa

Omugenzi ategerekese nga  Gabriel Tamale nga ono wa siniya 4.

Ono waakubiri okufa oluvanyuma lwa baasi ya kampuni ya Safaris UAL 779 U okusaabala abayizi b’essomero lya St Charles Lwanga Secondary School Kasasa bwebaabadde bali ku bijaguzo bya poliisi okuweza emyaka 100 nga eweereza eggwanga.

Okusinziira ku akulira eddwaliro ly’emasaka ekkulu , Dr. Florence Tugumisirize, 2 ku baafunye ebisago baakyusiddwa nebatwalibwa mu ddwaliro ly’e Rubaga ku kusaba kw’abenganda zaabwe.

Ategezezza nga bano bwekuliko  David Mawejje ne Patricia Ndagire abaafunye ebisago eby’amaanyi ku mitwe .

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji, omusango agutadde ku bavuzi b’ebidduka abavugisa ekimama kubanga ssi beebokka abakozesa enguudo zino.

Agamba omugoba wa baasi ono Muhanje Sadayo baabadde baamuyimirizza dda obutayisa wabula n’awalaaza empaka era n’amenya amateeka ga poliisi kale nga yakuvunanibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *