Amawulire

Omuwanguzi mu kulonda bamusanze muffu

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2018

No comments

BYA BILL OKETCH

Omuvubuka owemyak 19 abadde ajaguza olwomuntu we okuwangula akululu ka LC, asangiddwa nga muffu mu district ye Kole.

Omugenzi ye Daniel Odoc, ngokusinziira ku Jasper Obong, eyerabiddeko omulambo gwe gusangiddwa ku kyalo Apii ku luguudo oluva e Lira okudda e Kampala.

Ono ategezezza aba Daily monitor nti kibadde kizibu okutegeera omugenzi kubanga, kibadde kiwuduwudu nga tekuliiko mutwe.

Wabula kisubirwa nti wanadibaawo abamukozeeko obulabwe nga byekuusa aku kulonda, nga waliwo nabantu abalala abanyiga ebiwundu mu malwaliro oluvanyuma lwokulonda.

Omuddumizi wa poliisi mu district Joel Tubanone, abatuuze bamuneyezza okuleeta absirikale abangi, atenga tebasobola akukuuma bantu.

Yyo poliisi egamba nti okunonyereza akugenda amu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *