Amawulire

Omuvubuka asse munne lwa muwala

Omuvubuka asse munne lwa muwala

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district y’e Mpigi etandise okunonyereza ku kulwanagana, kw’abavubuka 2 ekiviiriddeko omu okufa.

Okusinziira ku akola omwogezi wa police mu bitundu bya Katonga Joseph Tulya, ababiri bakozi ku farm ya Tonny Mukiibi ku kyalo Gayaza mu town council y’e Mpigi.

Kigambibwa nti Gerivazio Amanya, owemyaka 39 yalwanye ne Emma Kakooza, owa 30 nebegwa mu bulago, okukakana ngomu mufu.

Afande Tulya agambye bateebereza nti ekyaviriddeko Amanya okutta Kakooza, nsonga za amuwala gwebabadde bakayaira.

Amanya mu kiseera kino aggaliddwa ku poliisi e Mpigi n’omulambo gwa Kakooza gutwaliddwa mu gwanika ly’eddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa, ngokunonyereza kugenda mu maaso.