Amawulire

Omutindo gw’eby’enjigiriza mu primary mubi ddala

Omutindo gw’eby’enjigiriza mu primary mubi ddala

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Minisita w’eby’enjigirizza ne mizannyo Janet Museveni ategezeza ng’omutindo gw’eby’enjigiriza mu nkola ya bonna basome ku mutendera gwa primary bwegukyali wansi.

Bwabadde mu kubaganya ebirowoozo kwebyo ebitukidwako  mu by’enjigiriza  mu mwaka gw’eby’ensimbi  2018/2019 mu Kampala, muko omukulembeze  we ggwanga lino ategezeza nga newankubadde nga omuwendo gw’abayizi kwe bayitira mu bonna basome gw’eyongedde okuva ku bitundu 91% okutuuka ku bitundu  91.4%, engeri abaana gye bategeeramu ekyali wansi nyo.

Okutegeera kw’abaana mu kibiina ekyo kusatu kuli ku bitundu  49%  songa ab’ekibiina ekyo 6 okuteegera  kuli ku bitundu  53%, wakati wa July 2018 ne June 2019,

Kati asabye bakugu mu by’enjigirizza okuvaayo bunambiro okunonyereza kunsonga eno okusobola okugyinogera eddagala.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *