Amawulire

Omusumba Zziwa asoomozeza akakiiko ké byókulonda

Omusumba Zziwa asoomozeza akakiiko ké byókulonda

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Abasumba mwe kelezia katolika balaze obwenyamivu ku bikolwa ebyobukambwe nokutiisatiisa ebyeyongera mu ggwanga

Bano okuvayo bwebati nga eggwanga ligenda mu kulonda kwa bonna mu ssabiiti ejja

Bwabadde awa obubaka bwa basumba obukwata ku kalulu akabindabinda, ssentebe wólukiiko lwa basumba Rt. Rev. Joseph Antony zziwa, era nga ye musumba we ssaza lya kiyinda-mityana, agambye nti ebigenda mu maaso bitiisatiisa abalonzi okwenyigira mu kalulu kano

Era ZZiwa yenyamidde olwe kikolwa ekyokugulirira abalonzi ekikyase enyo mu ggwnga na besimbye okukozesa olulimi olusiga obukyayi

Omusumba asoomozeza akakiiko ke byokulonda okulaba nti eggwanga liba nokulonda okwamazima nobwenkanya