Amawulire

Omusirikale avunaanibwa gwa bulyake

Omusirikale avunaanibwa gwa bulyake

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omusirikale wa poliisi owa Lugazi police station Tom Alyanga Embish asomedwa emisango gyobukenuzi kkooti ewozesa abalyake

Detective sgt Alyanga alabiseko mu maaso g’omulamuzi Albert Asiimwe emisango egimusomedwa agyegaanye.

Oludda oluwaabi lugamba nti ng’ennaku z’omwezi 22rd na 23rd mu mwezi gwokutaano aliko omuntu gwe yasaba enguzi ya mitwalo 10 aleme kuwandiisa musango gwe ogw’okufuna sente mu lukujukuju ogwali gumulopedwa Violet Nakalyana Lugazi.

Alyanga ayimbudwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 era alagidwa okukomawo mu kkooti ngennaku zomwezi 29th omwezi guno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *