Amawulire

Omusinga w’e Rwenzururu aganye okuziika nnyina

Omusinga w’e Rwenzururu aganye okuziika nnyina

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2019

No comments

Bya Joel Kaguta ne Thembo Kahungu, Omusinga we Rwenzururu Charles Wesley Mumbeere n’ababaka ba  palamenti abali ku ludda oluvuganya bazize omukolo ogw’okuziika Nnabakyala w’e Rwenzururu eyasa ogw’enkomerero ku lw’okubiri lwa ssabiiti ewedde

Omusasi waffe joel kaguta ali e bundibugyo atutegezeza nti okuziika Nyamukama Christine Biira Mukirania kuwedde ku kyalo kirindi nga Omusinga  takwetabyeko.

Wabadewo okusika omuguwa wakati womusinga ne mutowe minisita omubeezi oweby’obulimi Christopher Kibazanga ku kifo ki webalina okuziika maama waabwe.

Omusinga yali ayagala nnyaabwe aziikibwe e kasese ku kyalo Nyamirangara,mu gombolola ye  Muhokya e Kasese ku lwokubiri lwasabiiti eno wabula nga ye ye kibazanga ayagala ku muziika Bundibugyo

Gye bigweredde nga nyamukama bamuziise Bundibugyo era omusinga nagana okwetaba ku kuziika kuno.