Amawulire

Omusinga bamulinze e Kasese

Omusinga bamulinze e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Joel Kaguta

Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere essaawa yonna, asubirwa okutuuka ku e Kasese.

Omusinga tabadde mu bwakabaka bwe okumala ebbanga, okuva mu November wa 2016, wabula yazize nokuziika maama we omugenzi Christine Biira Nyamukama e Kirindi mu district ye Bundibugyo olunnaku lwe ggulo, bwebafunyemu obutakanya mu family.

Omwogezi wobwakabaka Maate Yona Tumusiime akakasizza, ngomusinga bwagenda okutukira ku kisaawe kye Kasese ku ssaawa 8.

Ate olunnaku lwenkya wakusisnkana abantu be, ku kanisa ya St. Paul’s Cathedral e Kamaiba.

Wabula embeera ya bugumu, ngomusasai waffe Jeol Kaguta, atubuliidde nti abantu bangi bagamba bamwesunze.

Yye omumyuka womudumizi wa poliisi mu district Vincent Twesigye agambye nti bagenda kumuwa obukuumi.