Amawulire

Omusango gw’okutta omuyimbi Radio gutandise

Omusango gw’okutta omuyimbi Radio gutandise

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2019

No comments

Bya Paul Adude

Omulamuzi wa kooti enkulu mu district ye Wakiso, etuula Entebbe Jane Francis Abodo atandise okuwliriza omusango gwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy, avunanibwa okutta omuyimbi Moses Ssekibogo yali amanyiddwa nga Mowzey Radio.

David Ebanget amanyiddwa nga Producer Washington yabadde omujulizi woludda oluwaabi asoose okulumiriza omuvunanwa, okutta omugenzi.

Washington ategezezza kooti nti ddala Troy yeyatta Radio, mu bukambwe bweyamukuba olwokuba yali amulabye.

Kinajjukirwa nti Mozey Radio yafa nga 1 mu Febwali wa 2018 oluvanyuma, lwolutalo olwali mu bbala ya Debar Entebbe nga 22 mu Janwali wa 2018.

Okuwulira omusango guno kukyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *