Amawulire

Omusango gwa Uganda ne RDC kutandise mu kooti ya UN

Omusango gwa Uganda ne RDC kutandise mu kooti ya UN

Ivan Ssenabulya

April 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Balirwana aba Democratic Republic ya Congo betaaga obuwumbi bwa $ 4 nobukadde 300, okuva eri Uganda mungeri yokubaliyirira mu ndoliito zebabadde nazo okumala ebbanga ezatandika mu myaka gya 1990.

Kooti eyekibiina kyamawanga amagatte, International Court of Justice yatandise okuwulirirza omusango guno.

Munnamateeka w’egwanga lya DR-Congo Paul-Crispin Kakhozi uyategezezza kooti era nalumiriza Uganda nti ekyaliwo okubalumba, kwali kulinyirirra ddembe lyabuntu, era tekyakolebwa mu mutima mulungi.

Omusango guno gugenda kuwulirwa okumala enzingu 10 nga ne Uganda esubirwa okutekayo okwewozaako kwabwe, ku nkomerereo ya wiiki eno.

Wakati wa 1996 nomwaka gwa 2003, amawanga agenjawulo galumba amatwale ga Congo, omwajira nobubinja bwabalwanyi, ngeno bekola ekya walugali ate okubba ebyobugagga bye gwanga eryo.

Kuno kwaliko ebyobugagga ebyomu ttaka nembaawo.

Kino kyekyabagula DR-Congo mu June wa 1999, okuddukira mu kooti ye’kibiina kyamawanga amagatte okuwawabira balirwana Uganda, Rwanda ne Burundi.

Wabula mu 2001, ate DRC yefukulula Burundi ne Rwanda nebabajjako emisango, nebajisigaza ku Uganda.

Uganda yyo Uganda ebaddenga egamba nti bakikola mu kwerwanako, nga baali balwanyisa bubinja bwabayekera obwali bwekukumye mu gwanga eryo, atenga Congo ebawa obuyambi nobukuumi.