Amawulire

Omusamize we Kayunga tafunye kw’eyimirirwa

Omusamize we Kayunga tafunye kw’eyimirirwa

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omusango gwomusamize avunanibwa okutta abantu nabaziika mu ssabo lye e Kayunga, gwongezeddwayo okutuukira ddala nga 24 omwezi guno.

Mohammad Wamala avunanibwa ne Owen Ssebuyungo emisango gyobutemu nga kigambibwa nti yattanga abantu, mu ssabo ku kyalo Kisoga mu gomboloola ye Nazigo mu district ye Kayunga.

Ono yabadde azze okusaba okweyimirirwa, wabula omulamuzi wa kooti enkulu Margter  mutonnyi ntalabikako, omuwandiisi wa kooti Cissy Mudasi kwekulagira babazeeyo ku alimanda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *