Amawulire
Omusajja yegaanye mukyala we
Omukazi atutte muganzi we ku poliisi ye Nalumunye ng’amuvunaana okugaana okumuddiza ssente zeyamwewolako n’okumusuula mu nju mu Kinaawa.
Mariam Kawaala agamba nti bba Charles Luyombya nga wa boda boda abadde asussiza okukwana abakazi abalala era ssente n’azimalira kwabo
Wabula Luyombya w’abuuziddwa ategezezza nga omuwala ono bw’abadde amwesibako nga tamuwolanga ko nansimbi.
Kino kikubye wala omukyala ono era mu kukayaana n’azirika
Omukyala ono ajjanjabwa kati mu ddwaliro e Mulago.