Amawulire

Omusajja asse muganzi we naye neyetta

Omusajja asse muganzi we naye neyetta

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Rukungiri etandise okunonyereza, ku lutalo olufiriddemu abantu 2 bwebafunye obutakanya.

Eno omukazi owemyaka 59, eyali muganzi we Coroneriyo Ndyarebaifty, amukakanyeko namutematema namutta

Omugenzi ye Dafuroza Nuwamanya nga batuuze ku kyalo Nyakahanga “B” mu gombolola ye Nyakajeme mu district ye Rukungiri.

Kigambibwa nti omusajja, nga baali bayawukana nomukazi ono, amulumbye ku dduuka wakolera, nebatanula okulwanagana, wabula waliwo customer ategerekeseeko erya Muhereza Francis, agezezaako okubataasa, naye namutwaliramu namutematema, era kati ali mu ddwaliro e Nyakibaale.

Omusajja Coroneriyo oluvanyuma alumbye omukazi ddaaki namutta, ate naye neyetugira, mu nyumba gyabadde yekwese, nagabatuuze baamuyigga.

Omwogezi wa poliisi mu ttundu tundu lya Kigezi Eli Matte, agambye nti batandise okunoyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *