Amawulire

Omuntu omu afiridde mu kabenje e Mpigi

Omuntu omu afiridde mu kabenje e Mpigi

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo

Akabenje kagudde mu disitulikiti ye Mpigi, nekatga omuntu omu nga nabalala babuuse nebisago ebyamaanyi.

Akabenje kano kagudde mu Kabuga ke Wamatovu-Nakirebe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Katonga, Lydia Tumushabe agambye nti akabenje kano kabaddemu emmotoka ya buyonjo corolla namba UAJ 347/J ngomugoba waayo ayingirirdde ekimotoka kyomusenyu bwabadde agezaako okuyisa.

Omugenzi yabadde avuga mmotoka eno, Boaz Nasasira owemyaka 25 ngafudde bakamutuusa ku ddwaliro lya Double Cure Medical Center.

Abamu ku balaumiziddwa babadde mu mmotoka yomusenyu, namba UBH 946/S nga kuliko David Mabirizi nabalala.

Mmotoka zombi zijiddwawo nezitwalibwa ku poliisi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *