Amawulire

Omuliro gukutte ekisulo kyabayizi ku Kings College Buddo

Omuliro gukutte ekisulo kyabayizi ku Kings College Buddo

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Poliisi yabazinya mwoto, wetwogerera nga bakyalwanagana nomuliro nabbambula, ogukedde okukwata okutuntumuka ku ssomero lya Kings College Buddo Secondary School mu disitulikiti ye Wakiso.

Omuliro guno gukutte ku kizimbe okuli ebisulo byabayizi, aba S3 ne S1 nga kitegezeddwa nti gutandise mu budde bwokumakya ku ssaawa 1 eyokumaliiri.

Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Oweyeisigire, basobodde okuziyiza omuliro guno obutasasaana ku kizimbe kyonna.

Tekinaba kutegerekeka guvudde ku ki, wabula poliisi etegezezza nti yakunyonyola oluvanyuma ebisingawo ku muliro guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *