Amawulire

Omuliro e Kasubi

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

kasubi tombs

Omuliro gukutte enyumba ya balongo  ku masiro ga ba ssekabaka e Kasubi.

Tekinnategerekeka omuliro guno guvudde ku ki naye ng’abaddukirize batuuse mangu okuguzikiza nga tegunnalanda

N’abazinya mooto batuuse mu kitundu kino kyokka nga basanze abantu bamaze okuguzikiza.

Katikkiro wa Buganda owekitibwa Charles peter Mayiga akyaddeko ku masiro gano n’agumya abantu ng’omuliro guno bwegutabadde gwa maanyi

Asuubizza nga bwebagenda okunonyereza era mu kaseera mpaawo kaaga, obuganda bwakuvaayo n’ekiwandiiko ekitongole.

Guno mulundi gwa kubiri ng’amasiro gano gakwata omuliro

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *