Amawulire

Omulimu ku kayanja ka Kabaka gutongozeddwa

Omulimu ku kayanja ka Kabaka gutongozeddwa

Ali Mivule

November 11th, 2015

No comments

File Photo:Abantu nga bavugiira amato ku nyanja ya kabaka

File Photo:Abantu nga bavugiira amato ku nyanja ya kabaka

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga  atongozezza omulimu gw’okukulakulanya akayanja ka Kabaka e Mengo

Akayanja kano kagenda kufuulibwa kya bulambuzi mu Buganda okujjamu ensimbi ezitambuza emirimu gy’obwa kabaka.

Ku Kayanja kuno kugenda kuzimbibwaako woteeri , ekifo ekirirwaamu nga kiri ku mazzi, awasimbwa emmotoka, ekifo ky’obulambuzi kko n’okuketolooza olukomera.

Katikkiro agambye nti ekifo kino kijja kuyamba Bugana okulinnyisa eddaala ,’okugisakira ensimbi olwo ne Namulondo enyweere.