Amawulire

Omulamuzi Mwangushya abiwakanyizza

Omulamuzi Mwangushya abiwakanyizza

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi 5 ku balamuzi 7 aba kooti ensukulumu bamaze okuwa ensala yaabwe, mu musango ogwawakanya ennamula ya kooti eya ssemateeka, eyawagira ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Abalamuzi 3 bagambye nti kyali kikyamu nga bakubye ebituli mu nnamula ya kooti eyasooka.

Ate 2 abalamuzi bawagidde ennamula ya kooti songa abalamuzi 2 bebasigadde.

Omulamuzi Eldard Mwangushya awakanyizza ekyokujja ekkomo ku muaka gyomukulembeze we gwanga.

Kati abalamuzi okuli ssabalamuzi Bart Katureebe ne Jotham Tumwesigye bebalindiriddwa okuwa ennamula yaabwe.

Mu nnamula ye omulamuzi Mwangushya anenyezza kooti eya ssemateeka, olwokuwagira ekyakolebwa palamenti, wakati mu vulugu eyali mu palamenti.

Ategezezza nga bwewataaliwo kwetabwamu kwabantu okwa namaddala, nga tebabebuzaako wabula nebalekebwa bbali.

Agambye nti nemu kuyisa ennongosereza zino mui palamenti abanatu babaulijjo tebaliwo mu palamenti, kubanga ekisenge kyabwe kyali kisbe kwolwo

Wabula yye alagidde mu luuyi lwesasulie ensimbi zebasasanyizza mu musango guno

Mu kusooka omulamuzi Stella Arach Amoko yye agobye omusango guno ogwokujulira.

Ku ky’okukyusa enyingo 102(b) agambye nti akiriziganya nabalamuzi abasooka nti okukyuusa mu kawayiro kano tekirina bwekiggyawo ddembe ly’abantu kuba obuwayiro obulala obwa Ssemateeka bubawa eddembe okulonda ani gwebagala abakulembere.

Abalamuzi 7 bebali mu mitambo gyomusango guno okuli Bart Katureebe, Stella Arach Amoko, Eldad Mwangusya, Lillian Tibatemwa, Jotham Tumwesigye, Rubby Opio ne Paul Mugamba.