Amawulire

Omulabirizi Luwalira akuutidde bannamawulire

Omulabirizi Luwalira akuutidde bannamawulire

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya,

Omulabirizi wé Namirembe Rt Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, asabye bannamawulire okutambuza enjiri ya christu okuyita mu bubaka bwabwe.

Bino bibabadde mu bubakabwe wakati mu kubulira mu kusaba okwokwebaza okutegekedwa e kanisa wakati nga bannamawulire bakuza olunaku lwabwe olwa World Press Freedom Day ku lutiko e Namirembe.

Bishop Luwalira ategeezeza nti bannamawulire balina okufumintiriza ku buweereza bwabwe bugasa abantu mu bitundu gye bawangalira okulaba nti bafuna ebyomwoyo ne byomubiri.

Mungeri yemu kitaffe mu katonda, ssabasalabirizi we kanisa ya Uganda, Dr Steven Kazimba Mugalu mu bubakabwe obumusomedwa omulabirizi Luwalira, akuutidde bannamawulire bulijjo okwogeranga amazima bewale okunonya amawulire aganabakolera emitwe emikulu yadde sijja mazima.

mungeri yemu Amawulire agatatukanye okweyongera mu ggwanga kiteredwa kukyokulinyirira eddembe lya bannamawulire.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa pulezidenti wekibiina ekigatta bannamawulire abasaka agebyemizannyo, Patrick Kanyomozi,mu kukuza olunaku lwa bannamawulire, ekyokukugira bannamawulire okukola egyabwe kivirideko amawulire agobulimba okusasaana mu bantu

Wabula aweze nti okuyita mu kibiina kyabwe ekya USPA bakukolerera okulaba nti bannamawulire beyagalira mu ddembe lyabwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *