Amawulire

Dereva wa Gen Katumba Wamala agenda kuzikibwa olwaleero

Dereva wa Gen Katumba Wamala agenda kuzikibwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abadde dereva wa minisita, Gen Katumba Wamala Haruna Kayondo agenda kuzkibwa olunnaku olwaleero.

Okusinziira kuboluganda, agenda kukibwa ku butaka, ku kyalo Lugando mu gombolola ye Bukango mu disitulikiti ye Bukomansimbi.

Madinah Nakibuule, mwannyina w’omugenzi asigaddewo yekka, agambye nti basaba gavumenti ebakwasizeeko ku baana omugenzi balese.

Yye Namwandu, Irene Achan yebazizza eggye lya UPDF ne General Katumba wamala olwobuyambi bwebawadde.

Agambye nti agenda kusalawo kyazaako obanga, anasigala mu nkambi yamagye webabadde babeera oba anafulumaawabweru okunoony obulamu obulala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *