Amawulire

Omukuumi asse omujaasi wa UPDF

Omukuumi asse omujaasi wa UPDF

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Felix Ainebyona

Poliisi e Mbarara mu Bugwanjuba bwa Uganda, etandise okunonyereza ku butemu obubaddewo amakya ga leero.

Eno omukuumi mu kitongole kyobwananyini, avudde mu mbeera nkuba omujaasi wegye lye gwanga amaasai agamusse.

Omugenzi ye Lance Corporal Denes Muhindo ngabadde akolera mu kibinja kyamagye ge gwanga ekyokubiri e Makenke mu kibuga Mbarara.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi Samson Kasasira bino bibaddwo mu kiro ekikesezza olwaleero, omujaasi ono bwabadde ava mu bbaala.

Kati poliii ekutte omukuumi ono Eldadi Kyakabale, nga bamugalidde ku CPS e Mbarara, bamuguddeko omusango gwobutemu ngokunonyereza kugenda mu maaso.

Kasasira agambye nti bagenda kuzuula nekigendererw akye kibadde ki okutta omujaasi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *