Amawulire

Omukuumi akubye omwana w’awaka essasi

Omukuumi akubye omwana w’awaka essasi

Ali Mivule

November 10th, 2015

No comments

File Photo: Emundu ekozesebwa abakuumi

File Photo: Emundu ekozesebwa abakuumi

Okuvaako e Mukono omukuumi yefuulidde omwana w’awaka n’amukuba amasasi lwakugaana kumuganza.

Alex Kadidi omukuumi mu kkampuni ya Security Plus Ltd yalumbye Caroline Natukunda  ow’emyaka 23 mu nyumba n’amusaba omuwase era olwagaanye n’amulasa amasasi

Amasasi omusirikale ono omwana yagamukubye ku kabina kyokka nga naye mu kugezaako okudduka, tuleera yamukoonye nga kati ajjanjabwa mu ddwaliro e Mulago.

Twogeddeko n’omwana alumbiddwa kko n’abenganda ze nebategeeza nti balirwaana abatabukidde omusirikale ono beebabategeezezza ebibaddewo