Amawulire

Omukozi wa Mobile Money asangibwa afiiridde wakolera

Omukozi wa Mobile Money asangibwa afiiridde wakolera

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2021

No comments

Bya Mbogo Sadat,

Abatuuze mu kabuga k’e Buwama mu district y’e Mpigi baguddemu entiisa oluvannyuma lwamunnaabwe olwókusanga munaabwe ng’afiiridde mu kayumba ka mobile money mwabadde akolera.

Omugenzi ategeerekese nga Oliver Nakandi omutuuze mu Teketwe zone, Buwama “B” cell mu Buwama Town Council.

Okusinziira ku batuuze, ono azuuliddwa omu ku bakasitoma abadde agenze waakolera okuggyayo sente kusimu, amusanze omutwe aguwunzise ku kameeza k’abadde yeeyambisa.

Atwala Police y’e Buwama Albert Natumanya atubuulidde nti banonyereza ku nfa y’omugenzi era omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika ery’eddwaliro e Gombe okwongera okugwekebejja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *