Amawulire

Omukozi wa gavumenti awawabidde gavumenti mu kakiiko

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukozi wa gavumenti addukidde mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu ttaka ng’ayagala bamuliyirire ensimbi ezisoba mu nukadde 500.

Saka James nga mukozi mu kitongole kya National Information Technology Autholity agamba nti government ngeyita mu Uganda land Board yatwaala ekyapa kye kati emyaka 3 emabega ngegamba nti egenda kumuliyirira obukadde obusoba 900, naye yamuwako obukadde nga 400 okutusa kati, abanjizza nobwoya nebuttuka kufumuuka nga buva ku magulu.

Kati ono ayagala gavumenti emuwe sente ze ezisoba mu bukadde bittaano ezasigalayo.

Saka agamba nti ettaka eryogerwako lisangibwa Bugangazi nga liweza yiika 640.

Wabula akakiiko nga kakulemberwamu omulamuzi Catherine Bamugemereire kakimutaddeko nti sente ezo zaali tezija mu ttaka eryogerwako kuba ebintu ebimu byali tebisobola kukozesebwa kuba kwaliko obusozi.

Wabula Saka yemulugunya ngamba ettaka lyali lya kitaawe omugenzi Ssebuko Peter naye yali yalifuna kuva ku Kitaawe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *