Amawulire

Omukazi omutemu

Ali Mivule

October 16th, 2013

No comments

kaihura

Poliisi e Bwera ekutte omukazi akutte omwana we ow’emyezi omwenda n’amugunda wansi enfunda nga ayagala kumutta lwa kitaawe kuganza  mukazi mulala.

Irene Masika  omutuuze we Mpondwe Kasese y’akwatiddwa poliisi oluvanyuma lw’okwagala okutta omwana we ow’obulenzi.

Poliisi yoomu kitundu kyekimu  ekutte omukozi w’awaka ow’emyaka 17 azadde omwana n’amusuula mu kabuyonjo.

Ono abadde akolera mu  maka ga Wilson Mujungu omutuuze w’okukyalo Kaserengeth mu district ye Kasese.

Mujungu abadde akimanyi nti omukozi we ali lubuto era nga y’agudde ku bujje lino mu kabuyonjo nga lijudde ebiwundu ku mumwa n’enyindo era nga liddusiddwa mu ddwaaliro lye Bwera kujanjabibwa.

Omuwala ono akyakumibwa ku poliisi nga okunonyereza kukyagenda maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *