Amawulire

Omuduumizi wa polisi asisinkanye abakulembeze.

Omuduumizi wa polisi asisinkanye abakulembeze.

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2019

No comments

Bya Barbra Nalweyiso.

Omuduumizi wa poliisi mu kitundu kye kya Wamala Latiff Zzaake atandise okutalaaga district ezikola ettundutundu lino, mwasisinkanira abatwala eby’okwerinda ku bitundu omuli ba RDCs, DISO, DPC, OCs n’abakulembeze b’ebyaalo, nga amakulu  kutema empenda butya bwebayinza okusalawo obutali butebenkevu mu bitundu ebyo.

Zzaake asinzidde  Kikandwa mu gombolola y’e Kalwana mu district empya ey’e Kassanda n’afalasira ba ssentebe b’bebyaalo okukola olujegere n’ebannaabwe abali mu by’okwerinda.

Ssentebe w’akakiiko k’eby’okwerinda e Kalwana era nga ye ssentebe w’eggombolora eyo Haj Ssaadi Kawooya, agambye nti ekitundu ky’e Kalwana okufaananako ne Kassanda yonna ebaddeyo obuzibu bw’ekibbattaka n’obutali butebenkevu, kale nga abakulemebeze bagwana okukwatira wamu okukomya kino.