Amawulire

Omubaka Nambooze asabye wabeewo okunonyereza ku bantu abawambibwa

Omubaka Nambooze asabye wabeewo okunonyereza ku bantu abawambibwa

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2021

No comments

File Photo: Nambooze ngayogera

Bya Ivan  Ssenabulya,

Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze asabye palamenti eteekewo akakiiko ak’enjawulo okunonyereza kiwamba bantu, ekyabaddewo mu biseera byakalulu.

Nambooze agambye nti ekiwamba bantu n’okubakwata awatali musango gwa ssimba, kyetaaga palamenti okukikwatako namaanyi, kubanga abantu bangi abatanyikiddwako mayitire.

Wiiki ewedde, mu kiwandiiko ekyasomebwa minisita wensonga zomunda mu gwanga Jeje Odong yategeeza nti abantu 13 bebamanyi, abasigadde bakunonyereza okuzuula ani yabakwata.