Amawulire

Omu ku bakulemberamu okumenya ekkomera e Moroto, bamukutte

Omu ku bakulemberamu okumenya ekkomera e Moroto, bamukutte

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Musasai Waffe

Ebitongole byebyokwerinda, poliisi namagye bakutte omusajj gwebabadde bamaze ebbanga nga bayigga agamabibw anti yeyakulemberamu olukwe, lowkumenya ekkomera ekkulu e Moroto, omwaka oguwedde.

Mu Novemba w’omwaka oguwedde, abaibe 224 bebatoloka okuva mu kkomera lino abasibe bwebasinza abasirikale amaanyi, nga bakuliita n’emmundu 15 namasasi 480.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Karamoja, Michael Longole ategezezza banaffe aba daily monitor agambye nti bamaze ebbanga nga bamulondoola wabula ku Bbalaza basobodde okuzuula ekifo wabadde yekukumye era bamaze nebamugombamu obwala.

Agambye nti omukwate ye Michael Moore nga yali ku alaimanda, wabula bamujje mu Katanga mu munisipaali ye Moroto.

Agambye nti ono yatoloka nemmundu namasasi 31 era yakikirizza, wabula kati akumibwa amagye ge gwanga aga UPDF ngokunonyereza kukyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *