Amawulire

Omu afiiridde mu kabenje- 25 balumiziddwa

Ali Mivule

August 30th, 2014

No comments

Accident Bus in accident on Masaka road

Omuntu omu yafudde n’abalala 25 nebalumizibwa mu bubenje bubiri obwenjawulo mu ggwanga lya South Sudan

Aduumira poliisi mu bukiikakkono bw’eggwanga Wislon Kwanya agamba nti akabenje akasoose kabadde mu kifo ekimanyiddwa nga Golden Hill kilomita nga 15 okuva e Nimule

Kano keetabiddwaamu baasi ba Baby coach eremeredde omugoba waayo neyevulungula abantu 25 nebalumizibwa

Akabenje ak’okubiri kko keetabiddwaamu baasi ba Bakulu ekoonye ambulance ebadde egenda okuddukirira abalumiziddwa

Dereeva wa ambulansi afiiriddewo.

Kwanya akabenje akatadde ku kimama ku ludda lwa bagoba ba baasi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *