Amawulire

Olwaleero lwerunnaku olw’okwefumintiriza ku musujja gwensiri

Olwaleero lwerunnaku olw’okwefumintiriza ku musujja gwensiri

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lw’omusujja gwensiri oba Malaria Day.

Mu bubaka obujidde ku lunnaku luno, ekitongole kyebyobulamu munsi yonna, World Health Organization balaze okutya ku musujja ogweyongedde wabula nga teguwulira ddagala, era kino bagamba nti kigenda kwongera okuzibuwaza olutalo ku musujja gwensiri.

Bagamba nti kitaddewo okutya, era bakubye omulanga eri buli akwatibwako okukola ekyamangu.

Ekirubirirwa ekyalambikibwa okuziyiza omusujja gwensiri 90% omwaka 2030 wegunatukira, bagamba nti kyandirema okutukibwako.

Ku mulundi guno, olunnaku luvugidde ku mubala “Zero Malaria–Draw the Line against Malaria”.

Emikolo gyolunnaku lwomusujja gwensiri emitongole, gigenda kukwatibwa ku Speke Resort e Munyoyo nga gigenda kwetabwako Ssabaminisita we’gwanga.

Mungeri yeemu ekitongole kyebyobulamu, World Health Organization (WHO) baliko amawanga 25 gebalondobyemu nga kuliko namwanga ga Africa 3, gebagenda okutwalamu kawefube wokulwanyisa omusujja gwensiri owa 2025 gwebatuumye ‘E-2025 Initiative’

Mu kawefube ono essira balitadde ku musujja gwensiri, atenga ne nabe wa ssenyiga omukambwe tebamusudde muguluka.

Aamawanga g Africa kuliko, egwanga lya Botswana, Eswatini ne South Africa nga basinzidde kungeri ekirwadde kya COVID-19 ate gyekyagotanyamu emirimu gyokulwanyisa omusujja gwensiri.