Amawulire

Olwaleero lwerunnaku lwaba-Sebei

Olwaleero lwerunnaku lwaba-Sebei

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga olwaleero asubirwa, okwetaba ku mikolo gya Sabini Annual Cultural Day.

Omukolo guno gugenda kubeera mu gombolola ye Luo mu district ye Bukwo nga gwakwetabamu aba-Sabiny mu district ye Bukwo, Kapchorwa, Moroto, Kwen nendala.

Ebimu ku bisirwa ku mukolo guno yensonga yokukekejjula abakyala mu mbugo, abeno kyebatwala nti kybuwangwa bwabwe, waddenga abalala bakitwalanga ekityoboola eddembe lyobuntu.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kino Rigers Taitika enteklateeka ziwedde, atenga nebyokwerinda binywezeddwa.

Alipoota yekitongle kyebibalo mu gwanga eya 2017 yalaga nti okukejjula abakyala nawala mu mbugo kuli ku 27% nga district ye Moroto yesinga ku 52%, nedirirwa Kapchorwa ku 13%.

Kino abakugu bagamba nti tekikoma kutyoboola ddembe lya buntu naye kya bulabe neri obulamu.