Amawulire

Olwaleero lunnaku lwabannamawulire

Olwaleero lunnaku lwabannamawulire

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye

Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lweddembe lyabannamawulire World Press Freedom Day.

Kati bannamwulire basabiddwa okwegatta awamu okusitula eddoboozi lyabwe, ku bikolwa ebyobukambwe bwabakuuma ddembe ebibakolebwako.

Omulanga guno gukubiddwa pulezidenti owa Uganda Journalists Association ekibiina ekigatta bannamawulire mu gwanga Matthias Rukundo.

Olunnaku luno luno werutukidde ng’ebikolwa ebyabakuuma ddembe okukuba n’okutulugunya bannamwulire bikyagenda mu maaso.

Wabula Rukundo agambye nti okusobola okulinnya ku ngfeete ebikolwa bino ekyetagisa okukolera awamu nokusitula eddoboozi eryawamu lisobole okuwulirwa.

Mungeri yeemu, Ssabawandiisi w’ekibiina kyamawanga amagatte Antonio Guterres alaze okutya kungeri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19 gyekyakosaamu bannamulire n’emirimu gyabwe.

Mu bubaka bwe eri ensi, Guterres agambye nti ssenyiga omukambwe alina engeri gyeyasanyalazaamu emirimu gyamwulire nekikosa nabantu okubakugira okumanya.

Agambye nti emikutu gyamwulire mingi egysanyalala era egigaddewo negimu nga gyolekedde okuggalawo, wabulanga nga kino kiteeka abantu mu kabi obutamanya mawulire agabakwatako nebifa mu bitundu byabwe.

Kati akubidde zzi gavumenti omulanga, okubaako engeri gyeziwagiramu bannamawulire n’emirimu gyabwe.