Amawulire

olwaleero lunnaku lwabamaama

olwaleero lunnaku lwabamaama

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ba maama mu Uganda, bawabuddwa nti basaanye okutendeka abaana baabwe okutereka ensimbi basobole okukula baveemu abantu abalungi.

Omulanga guno gukubiddwa Dr Margaret Sekidde, ssenkulu wa kampuni ya Seroma Hardware olwaleero ng aba maama bakuza olunnaku lwabwe oba Mother’s Day.

Bweyabadde ayogerera mu musomo gwa NSSF Financial Parenting Dialogue ogwafundikiddwa, Dr Margret Sekidde agambye nti kikulu nnyo okutendeka abaana okubeera ne nonno basobole okukwatanga obulungi ssente ate nokweyisa obulungi.

Obubaka bwe eri ba maama abasabye okwongera okubeera abakozi, obutekubagiza kwebyo ebikyagaanye oba beitatambula bulungi.

Agambye nti ebyokulabirako webiri nti bakoze, okukulakulana newankubadde tebasoma okufuna zzi diguli.

Olunnaku luno lukuzibwa okujjukira maama eyakola ennyo, okutakabanira ensonga zaba maama.

Anna Jarvis, era yeyasooka okulukuza mu mwaka gwa 1912, bweyategeka okusaba kwaba maama ku kanisa ya St. Andrews Methodist Episcopal

Lukwatibwa buli Sunday eyokubiri mu mwezi gwokutaano.