Amawulire

Olutalo lw’ebigambo wakati wa Bobi ne Muhoozi lweyongedde

Olutalo lw’ebigambo wakati wa Bobi ne Muhoozi lweyongedde

Ivan Ssenabulya

January 3rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Olutalo lwebigambo lweyongedde, wakati w’omuddumizi wegye erikuuma omukulembeze we gwanga Special Forces Command Gen Muhoozi Kainerugaba, akulmbera ekibiina kya NUP, era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine.

Okuyita ku twitter, Muhoozi abaddenga alumba Bobi Wine ngagamba nti yetababmu byobufuzi ebya layisi, okwogera ku bakuuma ddembe.

Olutalo lwabwe olukyasembyeyo lwaliwo ku lunnaku Lwokusattu Muhoozi, nga mutabani wamukulembeze we gwanga bweynenya Bobi Wine okwambala ngabakuuma ddembe, songa agamba nti ssi mutendekeko wadde.

Ono era yatekayo ekifananyi kya Kyagulanyi ngatudde ku ntebbe eyali emuwereddwa, nagamba nti Bobi Wine okumuyita Musinguzi kyabuswavu.

Kyagulanyi abantu bomu Ankole, bebamutuuma erinnya Musinguzi bweyali mu bitundu bye Mbarara, nga litegeeza omuntu omuwanguzi.

Wabula mu kwanukula Kyagulanyi yagambye nti Muhoozi, mutamiivu.

Kati Gen Muhoozib mu kwwozaako, agambye nti musanyufu okukirira abatamiivu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *