Amawulire

Olukiiko lw’abasumba lugaddwa

Olukiiko lw’abasumba lugaddwa

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Rita Kemigisa, Abasumba ba bakatoliki abasoba mu 400 bakunganidde ku kiggwa kya bajulizi e Namugongo mu misa egalawo olukungana lwa basumba mu Africa ne Madagascar (SECAM) oluyindidde mu ggwanga lino okumala ssabiiti nnamba.

Bwabadde ayogerera ku mukolo guno omumyuka w’omukulembeze w’olukiiko lwa SECAM eyasooka Rt.Rev. Sithembele Sipuka, okuva mu ggwanga lya South Africa akubiriza bannaddiini okusabanga yesu kristu mu buli kusomozebwa kwonna kwe bayitamu mu buwereza kuba yesu waali okubayamba.

Wabula mungeri yemu abakuutidde okukola buli kiri mu maanyi gaabwe nga bwebalindirira omukama.

Abasumba wano mu Uganda gw’emulundi ogusoose okukunganirawo mu bbanga lya myaka 50 bukya paapa yatongoza olukiiko lwa SECAM.

Mungeri yemu olukiiko lwa SECAM lulonze Kalidinaali Philippe Nakellentuba Cardinal Ouédraogo nga pulezidenti wolukiiko luno omuggya.

Ono azze mu bigere bya Most Rev. Gabriel Mbilingi, ssabasumba we ssaza lye Lubango,mmu ggwanga lya Angola,abadde mu kifo kino okumala emyaka 6.

Kalidinali  Nakellentuba yazaalibwa nga 25 January 1945 ngono yatikirwa ku busumba bwe Kaya, Burkina Faso nga 14 July 1973.