Amawulire

Olugendo lwa sabiiti y’obutonde bwensi

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Uganda eri mu ketalo, okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku
lwamazzi n’butonde bwensi olukuzibwa buli nga 16 March.

Kati ezimu ku ntekateeka ezikulembeddemu, abakungu okuva mu kitongole ekyamazzi n’obutonde bwensi batandise olugendo, basimbye kasooli, okwolekera disitulikiti ye Kasese.

Mu lugendo luno bagenda basiimba emiti ku nguudo, mu bibuga nga bakuza sabiiti ey’amazzi, n’obutonde bwensi.

Wakati mu lugendo, bano bawuubyeko olubu lwekigere mu e Mityana nebasiimba emiti n’okuyonja ekibuga ngekibinja kino kikulembedwamu Ayen Geofrey Walker ng’ono agambye
nti mukawefube ono bakutambula kilomitta 370 okutuuka e Kasese nekigendererwa okumanyisa abantu obulabe obuli
mu kutyoboola obutonde bwensi.

Mukalazi Deo, nga yakulira okutekeratekera munisipaali ye Mityana, agambye nti bagezezzako okusimba emiti wabula nalaga okutya ku bisolo ebitayaaya, era nasaba abantu babikuume obutalya miti gino.